Budala Kasujja atemeddwa ebijambiya ebimuttiddewo, nga kigambibwa nti asangiddwa mu lusuku lw’omutuuze ategerekeseeko erya Katongole ng’abba amatooke ge.
Bino bibadde ku kyalo Namusujja mu muluka gw’e Kiti mu ggombolola y’e Bukulula mu district y’e Kalungu.
Ssentebe w’ekyalo kino Mayiga Bbaale Emmanuel ategeezezza CBS nti nabo ng’abatuuze basanze mulambo, era police y’eLusango yebategeezezza nti ku kyalo kyabwe waliwo omuntu gwebasse.
Ssentebe Mayiga Bbaale Emmanuel agamba nti obubbi naddala obw’emmere bususse ku kyalo kino.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru