Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye Amateeka agaleetebwa Abazungu kuno galeme kukozesebwa kusanyaawo Buwangwa na Nnono, wabula gayambeko mu kutambuliza abantu mu kkubo eggolokofu.
Abadde yetabye mu kujaguza olunaku lw’Amateeka olwe 19 ku Nkumba University e Ntebbe.
Katikkiro agambye nti ennono za Buganda n’Obuwangwa musingi gwa maanyi nnyo mu nnambika y’a mateeka, nga n’olwekyo birina okukuumibwa Obutiribiri, nga ababivunanyizibwako bakozesa obumanyirivu bwebaba bafunye mu matendekero.
“Ebyenjigiriza birina kutuzibula maaso era nebituyamba okutegeera nti eby’obuwangwa byaffe byetukkiririzaamu ssi bya wansi era ssi bya sitaani” – Katikkiro Mayiga
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye ebyenjigiriza ebyettanirwa ensangi zino biwe ennimi enzaaliranwa Omwagaanya, bannansi basobole bulungi okumanya amateeka nga tegali mu nnimi ngwiira.
Minister w’Ebyenjigiriza Owek Cotilda Nakate Kikomeko nga yakiikiridde ssabawolereza w’Obwakabaka Owek Christopher Bwanika, asabye abayizi b’Amateeka mu ggwanga lyonna okumanya obuvunaanyizibwa bwebalina mu kukyuusa enneeyisa y’Abantu.
Omutesiteesi wa Nkumba University Prof Francis Kasekende,asabye abayizi b’Amateeka okukozesa omukisa gwebalina okutereeza ebiba bikyaamye mu ggwanga , okusinga okugukozesa okwegaggawaza.
Kuganja Jovan Joel nga ye president w’Abayizi abasoma Amateeka e Nkumba ,awadde obweyamo nti waakufuba okuteeka mu nkola ebibabuuliriddwa, naasaba bayizi banne bakolerere Amateeka agawa essuubi.
Bisakiddwa: Kato Denis













