
Bya Issah Kimbugwe
Olukiiko olwatekebwawo obwakabaka okunonyereza ku biviirako emivuyo mu mpaka z’omupiira ogwa masaza ga Buganda, námakubo agasobola okuyitibwamu okukuuma omutindo gwémpaka zino, lwanjudde alipoota entongole evudde mukunoonyereza kuno.
Olukiiko luno nga lukulirwa Ssentebe Sabiiti Muwanga lwalondebwa mu April 2020,nga besigama ku mivuyo egyaliwo mu mpaka za 2019.
Mu mpaka za 2019 omwafiira nómuwagizi wa ttiimu ya Buddu mu kisaawe e Mpigi, Buddu bweyali ettunka ne Mawokota.
Ebimu ku byanjuddwa mu alipoota eno era nga byetaaga okutereeza, kuliko ennamula yómupiira eyékiboggwe, okubulankanya kwa Ssente eri bonna abakwatibwako ensonga.
Mulimu ebyobufuzi by’eggwanga ng’abantu abamu bakozesa empaka zino nebigenderwa byabwe eby’obufuzi, abazannyi okugulirirwa bannabyabufuzi, abakulembeze obutawa balala kitiibwa nga beraga essajja, n’ebirala.
Ensonga zonna ezinomoddwayo zikwata ku bitongole ebyenjawulo, omuli ekya Majestic brands, eggwanika ly’obwakabaka,abakulembeze mu masaza, abaddukanya tiimu,abakommonsi ba firimbi, abazannyi n’abawagizi bennyini abamu abeyisa mu ngeri etasaanidde.
Ssentebe w’akakiiko akabadde kanoonyereza Ssabiiti Muwanga ayanjudde alipoota eno n’ategeeza nti eensonga zonna ezinokoddwayo zisobola bulungi okunogerwa eddagala.
Minister wébyemizannyo mu bwakabaka, Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, yebaziza olukiiko olwálipoota eno eyakolebwa mu kiseera ekyali ekizibu ennyo ekya covid 19.
Minister akakasizza nti ensonga zino zigenda kukwatibwa nóbwegendereza ate nókukolera ewamu okukuuma omutindo gwémpaka za masaza.