Abavubuka mu Bwakabaka bwa Buganda basabiddwa okubaako byebakolera Obwakabaka mu kaweefube waabwo owookudda ku Ntikko, nga beewala ebibawugula, era batuukirize nÓkutuukiriza bwebalina.
Abavubuka bano basabiddwa nti bwebaba baakugenda mu Masomero bagabeeremu bafune Obukugu obumala, balwanyise Obwaavu baleme kujoogebwa bannakigwanyizi.
Mu nteekateeka eno abavubuka bakiise embuga nebaleeta ebirabo bya Ssaabasajja Kabaka ebinafuuka Amakula ng’asiimye.
Ebimu ku birabo ebireeteddwa mu Lubiri mubaddemu Embuzi 104, Ente 2, Enkota zÁmatooke, Ssukaali, Enku neebirala bingi.
Ebirabo bino bibatikkuddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Lubiri e Mengo, era naasaba abavubuka mu Bwakabaka okugoberera Ensonga za Buganda ssemasonga ettaano, olwo bafune abakulembeze Buganda beyetaaga.
Katikkiro asabye abavubuka okulwanirira Obulamu bwaabwe nga beewala Mukenenya, kuba ssinga tebakikola Buganda eyenkya tebagenda kugirabako.
Minister wÁbavubuka ebyemizannyo nÉbitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo,yebazizza Abavubuka olw’omukwano omungi eri Ssaabasajja, naabasaba obutakoowa kukola.
Abavubuka mu Masaza gÓbwakabaka gonna nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe Ssejjengo Baker, balabudde nti tebagenda kukkiriza kujoogebwa bannabyaabufuzi abenoonyeza ebyabwe, era nebasaba government eyawakati okukomya okubuusa amaaso ensonga za Buganda.
Bisakiddwa: Kato Denis