Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga ki National Indetification and Registration Authority (NIRA) kyakawandisa abantu obukadde 3 ne kitundu mu enteekateeka gyekiriiko eyokuzza obuggya Endagamuntu za bannauganda.
Ekitongole kino kyatandika omulimu guno omwezi oguwedde ogwa May 2025.
NIRA etegezeza nti okusomozebwa kwekyalina be bazadde abajja okuzza Ndamuntu zabwe nebatatwala baana sso nga enteekateeka eno n’abaana ebatwaliramu.
Omuwandiisi mu kitongole kya NIRA Clair Olama asiinzidde mu lukuηaana lwa banamawulire ku kitebe kya police e Nagguru nategeeza nti abaana batono ddala abawandisiddwa mu enteekateeka eno, kwekusaba abazadde okujja nabaana.
Clair Olama agambye nti omuzadde kasita aba ne Ndagamuntu ye tewali birala bimusabibwa mu kuwandiisa omwana we, wabula tebanamanya lwaki abazadde tebanajjumbira kuleeta baana,kuwandisibwa kufuna Ndagamuntu.
Mu ngeri yeemu Olama ategezeza banamawulire nti enteekateeka ekyatambudde bulungi ,era yebazizza ebitongole ebikirizza abakungu ba NIRA okujja ne bawandiisa abakozi mu yaffesi zabwe.
Agambye nti nabemulugunya lwaki NIRA ebuzza ebikwata ku mawanga gabwe, eyagala okukakasa nti abawebwa Ndagamuntu bonna bannauganda nga amateeka wegabalagira.












