Abantu enkoko bajikutte mumwa okuyingira mu Nkuuka Tobongoota etandise okuyindira mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo.
Abantu abasinga abavudde mu bitundu bye wala esaawa wezaaweredde omukaaga ez’ekiro nga bus zitandise okubayingiza mu Lubiri, era abasirikale b’ebyokwerinda basuzeewo mu bungi okubawa obukuumi.
Enkuba ekedde okutonnya terobedde bantu kukeera kweyiwa mu Nkuuka.
Okuyingira mu Nkuuka abantu abakedde basasula shs 10,000 okutuuka ku ssaawa munaana, so nga abanaayingira nga ssaaqa munaana ziyiseewo bakusasula shs 15,000/=.#