Engo nsolo nkambwe, y’amaanyi ate ntemu.
Olw’ekikula kyayo, abantu mu buwangwa obwenjawulo balina byebajiwanuzaako.
Omuntu nebwaba emujjidde mu kirooto, ebirooto ebyo abantu abasinga tebatera kubyerabira, olw’obukambwe bwejja nayo okumutaagula oba obukkakamu obuyitiridde obutali bwa bulijjo.
Engo muziro wano mu Buganda, era ab’ekika ky’Engo obutaka bwabwe busangibwa Buteesaasira mu sazza Butambala.Akabbiro Kasimba.
Jajja omutaka w’akasolya k’ekika ky’Engo ye Muteesaasira Namuyimba Tendo II.
Amaanyi n’obukambwe bw’ensolo eyitibwa engo bwetwogerako mu mboozi yaffe eya leero, bweyolekera ne mumubala gw’ekika ky’Engo oguvuga nti;
“Akaala k’Engo namuzisa,buli kyekwatako eserengesa kibira. Nabbutto Nabbutto gwempita. Ggwe musota gwe ngo. Tenywa buugi erya nnyama”.
Namwanje,Nalubowa,Naggiriinya,Nakalyango, Ssinabulya,Kintu, Lubowa, Mwanje n’abalala beddira Ngo.
Abeddira engo wano mu Buganda bebakuza abaana b’e𝝶𝝶oma. Era abagiriinya ab’engo bebakola Enguugu ya Kabaka.
Engo kabonero kakulu nnyo mu bwa Kabaka bwa  Buganda, anti  eriko akakwate ku mannya agasukka mu 70 aga Ssaabasajja Kabaka, erya  Ssebuwufubwango.
Ku kyalo Nkumba ekisangibwa mu gombolola ya Ssaabaddu mu ssaza Busiro, yewagambibwa okuba nti waliyo Engo enkazi eyitibwa Nagaddya mu Nkumba,  ekuuma ekyalo Nkumba.
Engo eriko ebirooto
Ebirooto ebyo bivvunulwa mu ngeri zanjawulo mu bantu ab’obuwangwa obwenjawulo.
Engo nsolo y’amaanyi, era esobola okukwata ensolo endala gyebeera ekutte néjirinnyisa waggulu ku muti, eyo gyeriira omuyiggo gwayo.
Olw’amaanyi n’obukabwe bwayo mu Buganda, waliwo olugero olugamba nti
“Ekiwola okikwasa ngalo,eddiba ly’engo olyesiba mu kiwato”. Olyesibamu emaze kufa, bweba nnamu ng’obusungu bugyetimbye tewali ayinza kujitabaala.
Mu béggwanga lyábaluulu mu bukiika kkono bwa Uganda,  Engo kabonero ka bwa Kabaka bwabwe.
Abaluulu bakkiriza nti teri muntu asobola kwa𝝶aanga Ngo, era kizibu nnyo omuntu okuloota ng’agya𝝶anze.
Betty Binen okuva mu Acholi ye atubuulidde, nti okuloota Engo nga eri mu mirembe gyayo ekutunuulidde, kitegeeza nti abalabe bo bakutunuulidde.
Naye nti  olw’okuba abalabe abo obeera obasinga amaanyi, tebalina ngeri gyebasobola ku kutambaala.
Binen agamba nti singa omuntu aloota Engo ng’emulumbye n’eyonoona buli kintu ekiba kimwetoolodde, wabula  ye netamukwatako kitegeeza nti Katonda aba akulwanidde entalo z’abalabe zonna.
Mu Bugisu bano bakkiriza nti Engo kabonero akooleka amaanyi n’obuyinza , nti era omuntu tasaanye kutya singa aloota Engo .
Munsi endala ku lukalu lwa Asia ne Latin America, nabo balina engeri eby’obuwangwa bwabwe gyebyekuusa ku Ngo, era nabo bakkiriza nti ebirooto ebirimu Engo sibirooto byabulijjo. Engo bajjiwa nnyo ekitiibwa olw’amaanyi n’obuvumu bwayo.
Munsi ezo bakkiriza nti singa oloota Engo ng’eri mu ttale, kabonero akalaga nti ogenda kuvvunuka okusomooza kw’oyitamu,era kiba kyakukwetaagisa okussaamu amaanyi mangi okukuvvuunuka.
Era bagamba nti singa Engo ogiroota, ng’eringa eri mu buwambe, kitegeeza nti mukaseera katono obeera  waakuvuunuka emiziziko eminene mu bulamu bwo.
Okuloota Engo ng’ekulumba kiwanuuzibwa nti obeera ojjakubeera muwanguzi, wakati mukulwanirira obulamu bwo obw’omumaaso, olw’obuvumu bwoyoleseza okwa𝝶aanga Engo.
Ngóggyeko engo okubeera n’amaanyi amangi, erina amabala gaayo amatobeke obulungi amaddugavu  námeeru, era ganyumira abantu bangi okugatunulako.
Ekintu ekikulu omuntu kyalina okuyigira ku mabala géngo,  kwekuba nti amabala gano gagiyamnba okugyawula ku nsolo endala, era naawe omuntu tewandisanye kulwana nnyo okukyusa ebintu eby’enkizo ebikwawula ku balala.
Anti abamu awo webaggya amaanyi gabwe agĂ©nkizo, agabayamba okulwana okutuuka ku bigendererwa n’ebiruubirirwa by’obulamu bwabwe.
Bisakiddwa: Diana Kibuuka