Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebibiina by’Obufuzi ebikyali ebito okutwala Obudde biteeketeeke era birage ebiruubirirwa kwebinaatambuliza eggwanga, mu kifo ky’okumala ebiseera mu bitagasa.
Abadde asisinkanye bannakibiina ky’ebyabufuzi ki Democratic Front DF ekikulemberwa Omubaka wa Parliament owa Nyendo Mukungwe Owek Mathias Mpuuga Nsamba, abakiise Embuga olwa leero mu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye nti Ensonga za Buganda ssemasonga etaano zisaanye okussibwa ku mwanjo mu lutalo lw’Okufuula Uganda eggwanga eryegombesa, kuba tezisosola nkulaakulana ya Uganda eya wamu.
Katikkiro awadde bannabyabufuzi amagezi okutambuza ebyobufuzi eby’Ekisajja kikulu, omutali kusosolagana, n’Obutawuddiisa Bantu.
President wékibiina ki Democratic Front era nga ye mubaka wa Nyendo Mukungwe Owek Mathias Mpuuga Nsamba , ategeezezza nti ekibiina kyakulembera kyeetegefu okutwala ebifo byÓbukulembeze mu bitundu byéggwanga ebyenjawulo,nÓkumalawo ensobi ezizze zikolebwa.

Owek Mpuuga mu ngeri yeemu ategeezezza nti Uganda esajjakudde ekimala okukola ku nsonga zaayo zonna , kyokka olwobukulembeze obutali buluηηamu ekyawagamidde.
Omwogezi wa Democratic Front era nga yaavuganya ku kifo kyÓbwa meeya wa Lubaga Moses Kasibante, agambye nti baakutambulira wansi wÉbiruubirirwa byÓbwakabaka bwa Buganda ,ku lwobulungi bwa Uganda eyaawamu.
Bisakiddwa : Kato Denis












