Abakulembeze mu district eyé Wakiso bazikubyeemu nezaaka ku nsonga yékibira kyé Ggunda ekisangibwa mu Katabi Town Council ekifuuse Ndibassa, ekigambibwa nti kaakano amaka góbwa president gaakyeddiza ate nebakigabira musigansimbi nti akulaakulanye etttaka eryo.
Ekibira kyé Ggunda kiri ku bwagaagavu bwa yiika 140, kirimu ebika byémiti ebyénjawulo, wabula emiti egiwerako gyasalibwa,, mulimu nábalundiramu ente.
Bannawakiso nga bakulembeddwa omubaka wa parliament omukyala owa district Betty Ethol Naluyima, balambudde ekibira ekyo okukakasa ebikolebwayo, eyo gye basanze ngábakulu baakyebulunguzza ekikomera nebasibako gate, era baataddewo abakozi abeeyise aba State House.
Gyebuvuddeko district ye Wakiso yasazeewo okuwawaabira government, ngérumiriza nti ekibira ekyo kyayo, nti government teyinza kusalawo kukikulaakulanya nga tesoose kugyebuuzaako.
Olukiiko lwalagira akulira abakozi n’ebyemirimu-CAO Alfred Malinga okuwandIikira ministry awamu ne NEMA kunsonga zino.
Amyuka ssentebe wa district yé Wakiso Betinah Nantege ne bakansala bagambye nti ekisinze okubaluma kwekufuna amawulire nti state house ekibira yakyeddiza ate némala nékiwa musigansimbi, so ngómukulembeze wéggwanga bulijjo yeeyogerako nti yaásinga okulwanirira obutonde bwénsi.
Ssentebe wa Katabi Town Council Omulangira Kalema Basamulekkere agambye nti nga tebannasanyaawo kibira ekyo, waakiri babafunire ettaka eddala eryenkanankana n’eryekibira kino, basimbeko ekibira ekirala.
Wabula omuwi wa magezi ow’okutiiko eri president ku nsonga z’obulimi obwesigamiziddwa ku busuubuzi Dr. Hillary Musoke Kisanja agambye nti abakulembeze bé Wakiso beekangabiriza bwekangabiriza, kuba ebikwata ku kibira ekyo byalambikibwa bulungi eri ekitongole kyéggwanga ekyéttaka ki Uganda Land Commission.
Dr Hillary ategezeza cbs nti ekibira kino si kya maka gobwa President nga bwekyogerwa, agambye nti State House egenda kussaawo ttendekero lya Science ne Tekinologiya erigenda okutumbula ebyascience mu ggwanga lyonna.
Bino webijidde nga ministry ye by’ensimbi yayisa dda obuwumbi bw’ensimbi za uganda 57 buweebwe abagenda okuzimba ettendekero ery’omulembe ku ttaka lino, kyokka baalemwa okuziwaayo olwóbutakkaanya obukyali wakati wa State House ne district y’e Wakiso.