Abamu ku bakulembeze b’amawanga ga African batadde emikono ku ndagaano etuumiddwa Dar- es- Salaam Energy Summit Declaration, egendereddemu okubunyisa eby’amasanyalaze ku bisale ebisoboka eri amawanga ga Africa agenjawulo.
Abakulembeze bano bagamba nti kino kigendereddemu okulaba nti abantu abawera obukadde 300 mu mawanga ga Africa basobola okwetuusaako ebyamasanyaleze ku miwendo emisaamusaamu mu banga lya myaka 5 okuva kati.
Abakulembeze baamawanga ga Africa okutuuka ku bino babadde mu lukuηaana olwatuumiddwa Energy Summit olutudde ku Julius Nyerere International Convention Center mu Tanzania, gyebakuηaanidde okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okutumbula ebyamasanyalaze mu Africa.
Abakulembeze b’amawanga 25 n’abakungu abalala abasoba mu 1,000 bebeetabye mu lukuηaana luno nga Uganda president Museveni, yakiikiriddwa Ssaabaminisita Robinah Nabbanja.
Mu africa abantu obukadde 71 tebasobola kwetuusako masanyalaze olw’emiziziko ejiri ku bikozesebwa nebyetaAgo omuli emisolo n’ebyamaguzi okuba eby’obuseere n’ebirala, kyokka nti mu bbanga eritasukka myaka 5 okuva leero, baagala wakiri abantu obukadde 300 nga bebayungiddwa ku masanyalaze.
President Museveni mu bubaka bwatisse Ssabaminisita Nabbanja mu lukuηaana luno, agambye nti okubunyisa amasanyalaze tekirina kulekebwa bannakyewa oba bannekolera gyange ne kampuni z’obwannanyini nti kuba bebaviiriddeko ebyetago okuba ebyobuseere.
Agambye nti amawanga galina okwekwanyakwanya galabe ng’ensonga eno gajisaamu amaanyi bwegaba gaakukyusa ku byanfuna byago.
President Museveni mu bubakabwe agambye nti amasanyalaze, entambula y’okumazzi n’eggaali y’omukka oba , abakozi, ensimbi, ebyokwerinda n’emirembe byebimu ku bisinga okutambuza ebyenfuna mu mawanga agenjawulo nga ssinga bitereezebwa amawanga ga Africa gasobola okukula amangu.
Museveni agaseeko nti kino kiyambako okutumbula amakolero, abasiga nsimbi okweyongera.
President wa Tanzania Dr. Samia Suluhu Hassan, nga yaguddewo olukuηaana, agambye nti kyankizo amawanga okufaayo okusala ku bisale byeby’amaguzi ebikozesebwa mu kubunyisa amasanyalaze ku bantu gasobole okujjumbirwa buli wamu.
President wa African Development Bank, Dr. Akinwumi Adesina, ne Ajay Banga, president wa bank y’ensi yonna eya World Bank Group, beeyamye okwongera obuvujjirizi mu mawanga ga Africa ku kubunyisa ebyamasanyalaze n’obuyambi bwa bukadde bwa doola 48 mu mawanga ageetaga okukwasizaako.
Enteekateeka eno egendereddemu era okuggya abantu mu kufumbisa enku n’obutayonoona butonde bwensi.
Mu lukuηaana luno, Uganda era ekiikiriddwa minister omubeezi ow’ebyamasanyalaze Okasai Opolot, omubaka wa Uganda e Tanzania, Col. (Rtd) Fred Mwesigye, ne Irene Batebe, Omuteesiteesi omukulu owa ministry y’ebyamasanyalaze n’obugagga obwomuttaka n’abakungu abalala bangi.#