Abaami ab’amasaza ga Buganda balonze olukiiko olujja olubakulembera ku kisanja kya myaka ebiri, Pookino Jude Muleke omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu ye ssentebe bamwongedde ekisanja eky’okubiri.
Pokino amyukibwa Kaggo wa Kyadondo Agnes Nakibirige Ssempa,Omuwandiise ye Gatrude Nakalanzi Ssebugwawo okuva e Kooki, amyukibwa Regina Naseremba omumyuka wa Mukwenda owa Ssingo,Kangawo owa Bulemeezi Ronald Mulondo wa Mawulire ,Kayima wa Mawokota Gabriel Kabonge wa bagenyi , nabalala
Obukulembeze bwabwe babulondedde mu lusirika lwabwe olw’omulundi ogwa 2, bukyanga Ssabasajja Kabaka asiima wabeerewo ensirika z’abaami ba masaza na Bamyukababwe. Olwasooka lwali Busujju owa Kasujju, n’ekigendererwa eky’okwongera okubabangula mu nkola y’emirimu n’obuvunanyizibwa bwabwe.
Olusirika luno lukomekkerezeddwa leero lubadde lwa nakku 03, nga lubumbujidde mu ssaza lya Kabaka erye Bulemeezi ku mulamwa ogugamba nti obumu y’entabiro y’okusitula omutindo gw’obuweereza.
Bwabadde aggalawo olusirika luno Minisita omubeezi avunanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu n’okulambula kwa Kabaka Owek Joseph Kawuki abawadde amagezi nti wadde nga waliwo ebisomoozo ebitali bimu mu bitundu abaami byebakulembera, ntibabyeyambise okutuusa obuweereza bwabwe eri abantu.
Abasabye okubunyisa enteekateeka zonna ez’obwakabaka mu bitundu, Okukuuma Namulondo, okutegeka emikolo gya gavumenti ez’ebitundu n’emirala, okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eziyisibwa olukiiko lwa Buganda zissibwe mu nkola n’ebirala.