Police mu Kampala erinnye eggere mu kusaba okubadde kutegekeddwa ekibiina ki Peoples Front for Freedom PFF ku Katonga Road mu Kampala, ku bigambibwa nti tebateegeezezza Police ku bigendererwa byabwe.
Bannakibiina kya PFF bagamba nti babadde baagala kusabira bantu babwe abali mu makomera bayimbulwe, wabula ab’ebyokwerinda tebabaganyizza kugenda mu maaso na nteekateeka zino.
Amyuka omukulembeze w’ekibiina ki PFF mu Buganda Dr Lulume Bayiga agambye nti babadde bategese okusaba kwa bulijjo, wabula police bwekugaanye nebasalawo okukuvaako era nasaba bannakibiina baleme kuguguba okwewala ebiyiinza okuddirira.
Cbs bwetuukiride omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala ku nsonga z’okuyimiriza okusaba kwabanna kibiina kino ,agambye nti bakufulumya alipoota ku nsonga eno.
Abamu ku bannaPFF abali mu makomera mulimu ne president wabwe era eyali mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago eyagguddwako emisango gy’okumanya ku lukwe lw’abaali bateekateeka okuwamba government wabula natagibuulira.
Abalala ye Rtd.Dr.Kiiza Besigye nakazadde w’ekibiina ne munna Obed Kamulegeya nga bakwatibwa Nairobi nga kigambibwa nti gyebaali batuuliza enkiiko z’okuteekateeka okuwamba government ya Uganda, ne ba memba abalala.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif













