Omulamuzi wa Kkooti e Makindye asomedde president wa PFF Ssalongo Erias Lukwago omusango gw’okutegeera ku baali bateekateeka okulya mu government olukwe naasirika, naatagibuulirako (misprision of treason).
Erias Lukwago nga yali mayor w’e Kampala okutwalibwa mu kooti agyiddwa ku police ye Kira, oluvanyuma lw’okumala ennaku 2 nga tamanyiddwako mayitire.
Okuwambibwa kwa Lukwago
Lukwago yawambibwa ku makya ga Monday nga 15 June,2026, abasajja abaali baambadde ebyambalo by’amagye nga beesibye obukookolo bwebaamenya enzigyi z’ennyumba ye e Wakaliga mu Kampala nebamuwalaawala nebamussa mu mmotoka kika kya Drone nebabulawo.
Okuva olwo bannamateeka be nga bakulembeddwamu Medard Lubega Ssegona, awamu ne Nnalongo Zawedde Lukwago babadde banoonya mu buduukulu obw’enjawulo nga talabikako.
Bazzeemu okumulabako ng’ali ku police ye Kira gy’agguddwako emisango gy’okumanya ku by’okulya mu government olukwe naatagibuulirako.
Wabula okuva Lukwago weyabuzibwawo, police okuyita mu mwogezi waayo Rusoke Kituuma ebadde etegeeza nga bw’ebadde temanyi ku baawamba Lukwago, era ng’ebadde temanyi gy’akuumibwa.
Bino webijjidde nga Lukwago y’abadde akulembeddemu okuwolereza mu kooti, Rtd Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya abaawambibwa mu November 2024 mu Kenya, nebakomezebwawo mu Uganda nebaggulibwako emisango gy’okusekeeterera government, n’okuteekateeka enkiiko ezaali zigenderera okugiryamu olukwe.
Lukwago asimbiddwa mu kooti esookerwako e Makindye
Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Judith Nyamweza lutegeezezza kooti nti wakati wa November 2021 ne November 2024, Lukwago yamanyaako ku lukwe lw’okulya munsi olukwe olwakolebwa Rtd Col.Dr.Kiiza Besigye, Obed Kamulegeya,Joel Wakayima ne Frank Atukunda olw’okulya olukwe mu government ya NRM, wabula natategeeza ku bakulu abakwatibwako.










