Government ya Uganda yeddiza obuvunanyizibwa n’okulondoola byonna ebikolebwa ekitongole ky’amasanyalaze ekya Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL).
Abadde ssentebe wa boodi y’ekitongole kino, endagaano ye esaziddwamu, naabadde senkulu wakyo asindikiddwa mu luwumula olw’obuwaze.
Government egamba nti kino ekikoze okwetegereza n’okwekenenya obulungi entambula y’emirimu mu kitongole kino.
Government egenda kulonda akolanga ssentebe omuggya Owekiseera kino, saako agenda okukola nga senkulu okutuusa obukulembeze obwanamaddala webunaalondebwa.
Minister w’eby’amasanyalaze n’obuggagga obwensibo Dr. Ruth Nankabirwa Ssentamu agambye nti bagala kutereeza obuweereza bw’ekitongole kino, era agumizza bannauganda nti embeera y’amasanyalaze egenda kusigala etambula bulungi.
Nankabirwa ategezeza mu kiwandiko kyafulumiza nti ebirumira bibadde bingi mu bukulembeze obubaddeko, kale nga bagala okutereza ekitongole kino okukakasa nti kiweereza bannauganda bulungi.
Ekitongole kino kyakwasibwa obuvunaanyibwa bw’okutuusa amasannyalaze ku bannauganda mu mwezi gwa March 2025, oluvannyuma lw’emyaka 25 nga gaddukanyizibwa ekitongole kya UMEME.










