Ofiisi ya Ssaabaminister etaddewo akakiiko akagenda okwekenneenya enkalala z’abasuubuzi abagambibwa okuba nga bebaakosebwa amataba g’omwala gwe Nakivubo mu Kampala negonoona emmaali yabwe ku nkomerero y’omwaka oguyise 2025.
Waliwo abasuubuzi ababadde bagumbye ku police e Naggulu nga bagamba nti baluddewo okuweebwa ensimbi zabwe obuwumbi 20 government zeyabasuubiza okubakwasizaako, ekikosezza obulamu bwabwe nga tebakyalina sente zikola business.
Minister omubeezi ow’ebigwa tebiraze Lillian Aber ng’ali wamu n’omuteesiteesi omukulu mu ofiisi ya Ssaabaminister Alex Kakooza, batuuzizza olukuηaana lwa bannamawulire nebategeeza nti wakyaliwo ensonga ezikyetegerebwa ezirina okukanyizibwako, saako okumanya abasuubuzi abatuufu abaakosebwa.
Minister Aber agambye nti baafuna enkalala 3 ezigambibwa okuba nga zezaabasuubuzi abaakosebwa amataba, wabula zonna ziriko amannya ganjawulo.
Abasuubuzi abaakosebwa bebaalina amaduuka okwetoloola omwala gwe Nakivubo, Ssebaana Road ne Allen road.
Minister agambye nti government yabawa obuwumbi bwa shs 20 ezirina okuweebwa abasuubuzi bano okubakwasizaako sso ssi kubaliyirira nga bwebalowooza, era singa ensonga zinaaba zigonjoddwa abasuubuzi abo bakuweebwa ensi ezo baddemu bakakkalabye emirimu gyabwe.
Minister era ategeezezza nti mu nteekateeka gyebaliko, government yaweze abasuubuzi abakolera ku myaliriro egiri wansi mu bizimbe mu Kampala egimanyiddwa nga mu “Go down”, nti kubanga wateekeddwa kusimbibwayo mmotoka sso ssi bantu kukolerayo.#









