Ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kyanjudde entekateeka mwekigenda okuyita okwetaba mu kalulu k’okujjuza ekifo kya ssentebe wa district y’e Kikuube, nga kino kigenda kuddamu okulondebwa oluvannyuma lweyali ssentebe Peter Banula okufiira mu kabenje.
Mu lukuηaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku kitebe kya NRM ku Kyadondo road mu Kampala, Commissioner okuva mu kakiiko ka NRM ak’ebyokulonda
Alisemera Jane Babiha mwasinzidde okwanjula enteekateeka za kamyufu ke kibiina mwebagenda okuyita okulonda anaabakwatira bendera ku kifo kino.
Okusinziiru ku Commissioner Alisemera abaagala okuvuganya mu kamyufu ka NRM ku kifo kino batandise olwaleero nga 29 April,2026 okuggyayo empapula okutuuka ku lwokusatu nga 06 May,2026.
Ambassador James Kinobe nga naye commissioner okuva mu kakiiko ka NRM ak’ebyokulonda anyonnyodde ku bantu abakkirizibwa okwesimbawo ku kifo kino ekya Ssentebbe wa district ye Kikuube.m omuli okuba nti alina okuba nga nzaalwa oba omutuuze w’e Kikuube,munnakibiina ki NRM era ngavyawandiikibwa ng’omulonzi mu kakiiko ke by’okulonda n’ebirala.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith








