Government kyadaaki eyimirizza ebikwekweto ebya Trade Order byeyatandika okukogola ebibuga ebyenjawulo, omuli nókugoba abasuubuzi abakolera ku nguudo nébifo ebirala ebitakkirizibwa.
Ministry ya government ez’ebitundu yalangirira ebikwekweto ebimanyiddwa nga Trade Order, nga byatandikira mu Kibuga Kampala olwo nebisaasaanira ebibuga n’ebitundu ebitali bimu ,nga bamenya emidaala saako okugoba abantu abakolera ku nguudo abagambibwa okukoleera mu bifo ebimenya amateeka.
Minister omubeezi ow’ebyobusubuzi n’amakolero, David Bahati asinzidde mu Parliement nsalangirira nti bayimirizza ebikwekweto bino basooke betegereza embeera.
Wabula Omubaka wa Bukooli County Central Silwanyi Solomon asabye Minister okuwandiikira ba Town Clerk mu bibuga bayimirize okumenya emidaala gyábantu nókubasengula.
Government egenze okuyimiriza ebikwekweto bino nga banauganda bangi bakaaba olw’okumenyebwa emidaala gyabwe ,abalala tebakyalina mirimu , abamu ebintu byabwe ng’obuyumba mwebaali bakolera byaboyebwa.
Abasuubuzi bano enfunda eziwera bazze bawanjagira omukulembeze wa Uganda okukoma ku basirikale ba enforcement okundeeza ku bukambwe bweboolesa nga bamenya .
Abantu abazze bagobwa kunguudo balumiriza nti n’obutale gavumenti gyebasindika abantu okukolera bufunda tebumala basuubuzi bonna abakolera ku nguudo, nga n’abaguzi bakakubirizibwa okutuukayo
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius
.









