Olukiiko lwa district y’e Kalangala luyisizza ebiteeso ebisiima abadde omubaka omukyala akiikirira district eyo mu Parliament, Hellen Nakimuli eyafudde ku Sunday nga 19 April,2026 oluvannyuma lw’okumulongoosa mu lubuto naatadda ngulu.
Abakiise b’olukiiko lwa district nga tebeetemyemu basazeewo; Nakimuli bamubbulemu ekisaawe, okumubulamu olw’okuba ng’abadde ayagala nnyo n’okuwagira eby’emizannyo, bakumubbulamu eddwaliro awamu n’okuguudo nga basiima byakoledde district yabwe.
Abantu bonna abaweereddwa akazindaalo bamutenderezza olw’okuba ng’abadde tasirika mu parliament ku nsonga ezinyiga district yabwe n’eggwanga lyonna okutwalira awamu.
MU ngeri yrrmu bamutenderezza olw’okuba ng’abadde mugatta nga yayawula mu bantu, wadde ng’abadde mu kibiina ky’ebyobufuzi ki NUP
.
Abadde Omubaka Hellen Nakimuli yafiiridde mu ddwaliro lya Alexandra Medical Centre mu Kampala, era nga yagenze yevuga okutuuka mu ddwaliro naalongosebwa,wabula teyasobodde kudda ngulu.
Oluvannyuma omulambo gwagyiddwayo negutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa
Akolanga omukulembeze w’e kibiina ki NUP Lina Zedriga agambye nti betaaga okulaba ku alipoota ekwata ku nfa y’omubaka.
Taata w’omugenzi Hellen Nakimuli, Rev Fr Christopher Walusimbi awanjagide abazadde okukuza abaana nga baagala eggwanga lyabwe, era agambye nti empisa za Buganda byebimu ku bibadde bifudde Nakimuli ow’enjawulo.
Omulambo gugyiddwayo e Kalangala gyegwabadde gutwaliddwa abaayo okukungubagira omubaka wabwe, okluvannyumwa gugyiddwayo neguzzibwa e Kampala, olwo ababaka ba parliament basobolr okumukungubagira ku Wednesday nga 22 April,2026, olwo aziikibwe ku Thusrday nga 23 April e Luweero.
Hellen yalondebwa okuyingira parliament ya Uganda ng’omubaka omukyala ow’e Kalangala mu kalulu ka 2021, era nga wafiiridde nga babadde bakamwongera ekisanja ekirala mu kalulu ka 2026.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











