Gavument ya Uganda erumiriza kampuni zakuno ezamafuta nti zakutte amafuta agaabadde mu materekera nezigagabanya ne kampuni ze Kenya bwezirina enkolagana nti kino kyekiviiriddeko amafuta okubula mu bitundu byeggwanga ebitali bimu
Amasundiro gamafuta agawerako mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo naddala wano mu Kampala tegalina mafuta, abakozi baago ennaku bbiri eziyise bazimazeeko nga beekolera byaabwe olwebbula lyamafuta eririwo
Kati gavument okuyita mu ministry yamasanyalaze amafuta nebyobugagga ebyensibo egamba nti eggwanga lyabadde namafuta agamala okuyimirizaawo eggwanga okumala akaseera, wabula kampuni zamafuta zaakute amafuta ago nezigagabira kampuni za Kenya bwezirina enkolagana ekireeteddde amafuta okubula mu Uganda.
Minisita webyobugagga ebyensibo, amasabyalaze namafuta Dr Ruth Nankabirwa alabudde nti gavument egenda kukangavvula kampuni zino yadde tazoogedde mannya, naagamba nti kyezaakoze tekikkirizbwa
Minister Nankabirwa wabula agumizza bannansi nti, waliwo emeeri eyettise amafuta ga Uganda agaweza liita obukadde 119 etuuka e Mombasa olwaleero nga 15 April,2026, kwekusaba bannayuganda babeere bagumiikiriza.
Okuva olutalo lwa Israel ,America ne Iran lwerwaatandiika, ebeeyi yamafuta ezze erinnya olw’ebirombe byamafuta ebyakubwa mu kyombo kya Buwarabu, songa nentambula yemeeri ezettika ebyamaguzii okuli amafuta nayo yagootaana
Ebeeyi yamafuta ku masundiro g’amafuta buli olunaku oluyita erinnya nga liita ya petrol eri wakati wa shillings 5300 ne 5700 songa diesel ali wakati wa shillings 5000 ne 5200 buli liita.
Ebibalo biraga nti Uganda ekozesa obukadde bwa liita z’amafuta okuli diesel ne Petrol 6 n’ekitundu buli lunaku, nga kino kitegeeza nti liita zamafuta 119 eziri ku meeri ezijja mu Uganda zakutwaaza eggwanga ennaku 18.#









