Banna Uganda abaagenda e Saudi Arabia okukola Umurah bakyakonkolalidde mu kibuga Jeedah okumala kati ennaku 2, olw’entambula z’ennyonyi ezaasaziddwamu.
Kyavudde ku Drone ennwanyi ezeetalira mu bwengula, ekyaleseewo okutya nti zandituusa obulabe ku bantu.
Abamu ku banna Uganda abakyakonkomalide e Jeedah kwekuli n’ababaka ba Parliament okuli Hassan Kirumira owe Katikamu South ne Moses Kabuusu owe Kyamuswa.
Tebanamya kiseera kituufu mbeera eno wenaakoma, wadde nga baabadde basuubira Eid okujiriira mu Uganda n’abantu babwe.
Eid yalangiriddwa nga yakukuzibwa enkya ku Friday nga 20 March,2026.
Abalamazi bangi bakyakonkomalidde ku bisaawe ebyenjawulo mu Saudi Arabia,nga ekizibu kivude ku lutalo olugenda mu maaso wakati wa America ng’ekolagana ne Israel nga zirumba Iran.
Wabula mu kiseera kino Iran obwanga nayo yabwolekeza ebitebe bya America ebiri mu mawanga g’ekyondo kya Buwalabu omuli Saudi Arabia.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif










