Police n’abebitongole by’okwerinda ebirala mu bendobendo lye Masaka bakutte abakozi 7 aba Court Yard hotel mu kibuga kye Lyantonde, bagiyambeko ku by’okunoonyereza ku bazigu b’emmundu abagambibwa okuyingirira Omubaka wa parliament owe Kabula Enos Asiimwe Kinywamacunda.
Obulumbaganyi buno bwamukolebwako mu kiro ekyakeesa Sunday nga 15 March,2026 mu Courtyard hotel, wabula omubaka yesimattula naayita mu ddirisa okuva ku mwaliriro ogwokusatu, era naamenyeka okugulu.
Omwogezi wa Police mu bitundu bye Masaka Afande Twaha Kasirye, agambye nti abakwate batandise okubanoonyerezaako.
Abakwate kuliko abasajja 4 n’abakazi 3.#










