Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa yesamulidde ddala ebyokubeera n’akakwate mu kumenya ettunduttundu ku katale ka St Balikuddembe akamanyiddwanga Owino Market nga bwebibadde biyitiηηana.
Tayebwa agambye nti nga munnauganda omulala yenna, ng’ayita mu mitendera emituufu egirambikiddwa mu mateeka, yali yafuna liizi ku ttaka mu bitundu bye Nakivubo okuliraana akatale ka Owino mu mwaka 2018, okuva eri KCCA okubaako emirimu gyakolerako.
Wabula nti bweyatwala pulaani y’okukulakulanya ettaka eryo eri ekitongole kye kimu ki KCCA okumuwa olukusa okuzimba, ekitongole kyamutegeeza nti ettaka eryo kyali kiryetaaga olw’obukulu bwalyo, era oluvannyuma KCCA yamuliyirira ettaka neeryeddiza.
Tayebwa anyonyodde nti takyalina bwannanyini bwonna ku ttaka eryo erisangibwa mu bitundu bye Nakivubo oba owino, n’olwensonga eyo talina nsonga yonna kweyandisinzidde okusengula n’okumenya ettunduttundu lyakatale ka Owino nga bwebyogerwa #












