President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alagidde abakulembeze b’ekibiina kya NRM ku mitendera gyonna bave mu by’okusirika obusirisi ng’ab’oludda oluvuganya boogera eby’obulimba ku nteekateeka za government nebawubisa abantu.
President Museveni abadde asisinkanye abakulembeze ba NRM abaakalondebwa mu kitundu kye Masaka.
Abagambye nti banyiikire okunnyonyola ppulogulamu za government zonna abantu bazimanye ate basobole okuziganyulwamu.

President era abalabudde okwewala entalo eziyinza okwawulayawula mu ba memba b’ekibiina, nti kubanga kiviirako okuziηηamya emirimu gy’ekibiina.
Abagambye nti bannaNRM abaalondeddwa mu bitundu kibakakatako okulondoola enteekateeka za government zonna eziriyo, era bafube okulaba ng’abantu bonna baziganyulwamu.












