Police mu Kampala n’emiriraano ekutte abantu 3 abagambibwa okusangibwa n’ennyama y’ente enzibe, nga babadde batandise okugitunda mu Kampala.
Bakwatiddwa oluvanyuma lwa police okufuna amawulire nti waliwo emmotoka ekika kya Toyota Wish NO. UBG 345 S enjeru eteeberezebwa okutambuza ebintu ebibbe.
Okusinziira ku police emmotoka eno egigoberedde era bwetuuse e Nankulabye neetandika okupakulula ennyama y’ente, era awo police wekwatidde ababaddemu.
Abakwate ye Guloba Hamza mukinjjagye,Bukenya John yabadde avuga emmotoka saako Saaka Kisiga Ssalongo.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala agambye nti okunoonyereza kwebakakolawo kulaga nti ente zino zibadde zaabbiddwa okuva mu bitundu bye Ziroobwe ne Luweero.












