Akakiiko k’ebyokulonda ka The Electoral Commission of Uganda kakasizza Richard Baabo Kamugisha nga Ssaabawandiisi waako omujjuvu, era nga ye muteesiteesi omukulu.
Richard Baabo Kamugisha yaabadde akuuma ekifo ekyo okuva mu 2024.
Richard Kamugisha awerezza mu kakiiko k’ebyokulonda okuva mu mwaka 1999, yaliko avunanyizibwa ku by’ensimbi, sso nga era yakulirako eby’ekikugu mu kakiiko.
Azze alinyisibwa amaddaala okuva lweyegatta ku kakiiko,yakulirako ebyokulonda mu district ezitali zimu,era yaliiko Director w’e mirimu ne bifo ebirala bingi.
Omwogezi wa kakiiko ke byokulonda Julius’ Muchunguzi agambye nti Kamugisha Kati ye muteesiteesi omukulu owa kakiiko omujjuvu.
Julius Muchunguzi ategezeza cbs nti Kamugisha wakuweereza mu kifo kino ekisanja kya myaka 5 ng’etteeka bweriragira, era nga gyatandise nga 04 March,2026..#











