Goverment ekoze ennongosereza mu tteeka eriruηηamya entambuza y’emirimu mu kkooti ezisookerwako ezimanyiddwa nga Magistrate courts, eyagala okulinyisa omutemwa gw’ensimbi ezibalirirwa mu misango kkooti ezisookerwako gyegikkirizibwa okuwuliriza n’okuwa ensala yaazo.
Mu tteeka eririwo erya magistrate court Act ,chief magistrate takkirizibwa kuwuliriza yadde okuwa ensala y’emisango egisuka omutemwa gw’ensimbi obukadde 50.
Grade One magistrate emisango gyakkirizibwa okuwuliriza gyejo egibalirirwamu omutemwa gw’ensimbi ogutasukka bukadde bwa shs 20, so nga magistrate grade 2 emutemwa gw’ensimbi ez’emisango gyakkirizibwa okuwuliriza gyejo egitasukka mitwalo 50.
Emisango egisukka obukadde 50 gitwalibwa mu kkooti enkulu, ekireetedde kkooti eno okutubira n’emisango egikandaalirira eyo emyaka n’ebisiibo, bannansi nebatafuna bwenkanya mu budde.
CBS ekitegeddeko nti government okuyita mu ministry ya ssemateeka n’essiga eddamuzi, ennongosereza ezimu zeteesetese okwanjulira parliament, eyagala kooti ento eza Chief magistrate ziwozese emisango egizitowa obukadde bwa shs 200 okuva ku bukadde 50 bwekiri mu kiseera kino.
Kkooti za Grade one government eyagala ziwozese emisango egizitowa okutuuka ku bukadde 100 okuva ku bukadde 20 weziri mu kiseera kino.
Kooti za magistrate grade 2, government eyagala zitandiike okuwozesa emisango egizitowa okutuuka ku bukadde 50 okuva mu mitwalo 50 kweziri mu kiseera kino.
Parliament eyitiddwa okuva mu luwummula lwemazeemu akabanga okuddamu okutuula ku Tuesday nga 10 March,2026 era ebimu kwebyo ebisookerwako, ye minister w’ensonga za ssemateeka n’essiga eddamuzi okwanjula ennoongosereza mu tteeka lino erifuga kooti ento mu ggwanga.
Kinnajjukirwa nti etteeka lya magistrate lyasemba okukolebwamu ennongosereza mu mwaka gwa 2007.
Mu mwaka 2024, omubaka wa Mukono North Abdallah Kiwanuka yayanjulira parliament ennoongosereza mu tteeka lino, wabula tezaagenda wala era okuva olwo nookutuuka kati tezimanyiddwa gyezaakoma.
Alipoota ekwata ku ntambuza y’emirimu mu ssiga eddamuzi n’engeri gyerikuttemu emisango eya The Judiciary’s National court case census Report ey’omwaka 2026, eraga nti kooti okutwaliza awamu zitubidde n’emisango egikandaaliriddeyo egiwera 167,353 nga ku gino emisango emitwalo 70,006 gitubidde mu kkooti enkulu.












