Okulayiza president wa Uganda aliko era eyalangirirwa ku buwanguzi bw’ekisanja ekirala ekya 2026 -2031 Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, kwakubaawo nga 12 May,2026 ku mukolo ogunaabeera ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ensonga zobwa President Hajji Yunus Kakande abuulidde CBS nti enteekateeka z’emikolo zitandiise mu butongole.
Hajji Yunus Kakande agambye nti waliwo ensisinkano yabakulira ebitongole ebikwatibwako ensonga eno, egenda okutuula okubaako byebakkanyaako ku ngabanya y’emirimu.
Nga 17 January,2026 akakiiko k’ebyokulonda kaalangirira Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ku buwanguzi bwentebbe ya president wa Uganda, nga yafuna obululu 7,944,772, by’ebitundu 71.4%.
Eyakwata ekyokubiri Robert Kyagulanyi Ssentamu yafuna obululu 2,741238, mu kulonda okwaliwo nga 15 January,2026 nga kwalimu abantu 8 abaavuganya ku ntebe y’obwapresident.
President Yoweri Kaguta Museveni agenda kulayizibwa ku kisanja kya musanvu ng’akubwako akalulu.
Ekisanja ekijja eky’omusanvu wekinagwerako mu mwaka 2031,aggya kuba afugidde emyaka 45 okuva lweyakwata obuyinza mu mwaka gwa 1986, oluvanyuma lw’okuwangula olutalo lw’ekiyeekera.
Kinnajjukirwa nti nnaku ntono eziyise, kkooti ensukulumu yakoona stamp mu buwanguzi bwa president Museveni, oluvanyuma lwa Robert Kasibante eyali yeesimbyeewo ku kifo kye kimu, okugyayo omusango gweyali aloopye mu kkooti eyo mweyali awakanyiza ebyava mu kulonda
Okulayira kwa president Museveni ng’ennaku z’omwezi 12 May,2026 kwekuggalawo ekisanja kya government kino ekya 2021-2026, era kwekuggulawo ekisanja ekirala eky’omwaka 2026-2031.
Mu ngeri yeemu Parliament yakutandika okulayiza ababaka baayo okuva ng’ennaku z’omwezi 13 okutuuka nga 17 May,2026.#













