Government ya Uganda erangiridde nti yakyusizza mu nteekateeka y’okuzimba enguudo ezimu, oluvanyuma lw’okukizuula nti ebadde yakusasula ensimbi nnyingi mu kuliyirira abantu.
Kivudde ku alipoota ya Ssaababalirizi w’ebintu bya government okulaga nti efiirwa obuwumbi bwa shs obusoba mu 6, mu nteekateeka y’okuzimba enguudo ezitaggwa.
Enguudo ezogerwako kwekuli oluguudo lwa Jinja Express Way ne Busega-Mpigi Express Way, ezaasubizibwa okumalirizibwa wabula nokutuusa leero teziggukanga.
Minister w’ebyentambula n,enguudo, Gen. Edward Katumba Wamala, bwabadde alambulula ku nteekateeka yenguudo zino, agambye nti oluguudo lwa Busega Mpigi Express High Way, government yazeemu okulwetegereza neekizuula nti plan eyasooka okufulumizibwa tesobola kutuukirizibwa.
Gen Katuma Wamala agambye nti ku Plan enkadde oluguudo luno lwali lwakuyita mu bizimbe by’abantu ebiri mu bitundu ebimu, naye nga government terina ssente zimala kubasasula, kaakano lwakyusiddwa lugenda kuyita mu kitoogo.
Gen Katumba Wamala ku luguudo lwa Jinja Express High Way, olwalina okutandikibwako ku ntandikwa yomwaka guno 2026, agambye nti batandise okuteesa ku nsonga ezenjawulo naabaawebwa ttenda okulukola nebyetagisa, wabula nga mwetagisibwamu ensimbi nnyingi.
Gen Katumba Wamala era ku nsonga yokuwa banna Uganda emirimu n’obutajimalira mu bagwiira, agambye nti bakukwatagana ne bamusiga nsimbi ne ba Engineer ba Uganda okulaba nti batuukana n’omutindo ogubeetagisa.
Olwaleero Uganda yegasse kunsi yonna okukuza n’okwefumintiriza ku lunaku lwaba yinginiya olwa World Engineering Day, olwateekebwawo ekitongole kyensi yonna ekya UNESCO olukwatibwa buli nga 04 March.
Bwabadde ayogerera ku bikujjuko byokukuza olunaku lwa ba yinginiya ku Hotel Africana mu Kampala, Eng Ronald Namugera, Registrar wekitongole kya Uganda Engineering Board, agambye nti bakwongera okukozesa enkola endigito mu buweereza bwabwe n’okutumbula emirimu gy’obwa yinginiya.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis













