Police ya Uganda ekutte abasajja 2 abasangiddwa n’ebijambiya mu bitundu bye Kabuusu mu gombolola ye Lubaga mu Kampala, nga bateeberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka.
Abakwatiddwa basangiddwa n’ebijjambiya, era nga bagiddwa okulirana essuundiro lya mafuta erya Total e Kabuusu, oluvannyuma lw’omukuumi w’essundiro lino okubekengera.
Police egamba nti bagenda kubuuzibwa akananakataano okumanya ebijjambiya byebasangiddwa nabyo kyebabadde babikozesa negyebabadde balaga.
Omwogezi wa police ya Uganda Rusooke Kituuma ategezeza bannamawulire ku kitebe kya police e Naguru nti bali bulindaala okulaba ng’abamenyi b’amateeka tebaweebwa mukisa gwonna kukola bikolobero ku bannauganda.
Kituuma asabye bannauganda okukolagana ne police ne bitongole ebirala ku bantu bebabeere bekengedde mu bitundu byabwe, bategeeze police mu bwangu.
Agamba nti balina ne gwebakutte ku Lugogo by Pass, oluvanyuma lwokwekenenya camera zabwe, bagenze okulaba ng’abadde abeera nnyo mu kifo kino.#












