Abantu 6 bafiiriddewo mu mbulaga ate abalala 7 nababukawo n’ebisago eby’amaanyi, mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kiboga okudda e Hoima, ku kyalo Kyakabuga.
Emmotoka lukululana kika kya fuso fighter No.UBF 541C etomereganye ne bbaasi No. UBQ 595G.
Bakaawonawo balumiriza nti akabenje kano kavudde Ku mugoba wa lukululana ebadde eva e Hoima ng’edda Kampala ngetisse amanda, bwewugudde ekinnya olwo kwekutomeregana ne bbaasi ebadde eva Kampala ng’edda Hoima olwo emmotoka zombi nezikwata omuliro.
Police enzinyamwoto okuva e Kyankwanzi ngeri wamu neye Hoima zirwanye bwezizingirire okuzikiza omuliro guno.
Abafudde kuliko Muhumuza Gerald_ omugoba wa bbaasi, Linongola Matsukizo munnansi wa Congo, ate abalala 4 ababadde batambulira mulukululana bbo babadde tebanamanyika bibakwatako.
Omwogezi wa police mu ttundutundu lya Wamala SSP Lameka Kigozi agambye nti abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro lya Kikonda Health centre 3 ate emirambo, negitwalibwa muggwanika lye ddwaliiro lye Hoima.#












