Ministry y’ebyentambula n’enguudo etegeezezza nti government ewaddeyo ensimbi eri kampuni enkozi z’enguudo, okuddamu okukakkalabya emirimu naddala ku projects ennene eziwerako, kampuni zino zezaali zaasulawo olw’obutaba na nsimbi.
Enguudo ezibadde zaaziηηama kuliko oluguudo lwa Mityana -Mubende-Fortportal, Kira -Kasangati, Najjanankumbi Busaabala, Busega -Mpigi Express n’endala.
Kampuni zino zaali zaasulawo emirimu olwamabanja gezaali zibanja government.
Amyuuka omwogezi wa ministry yebyentambula n’enguudo Allan Ssempeebwa, agamba nti ku ntandiikwa y’omwaka guno 2026, government yafunayo ku nsimbi era kampuni zino zasasuddwa era zitandiise okuddamu okukakalabya emirimu ku projects ezo.
Oluguudo lwa Kira-Kasangati olwa kilometer 23 lwakuwementa obuwumbi bwa shs 200, lwatandiika okukolebwa mu mwaka gwa 2021, wabula nokutuusa Kati lukyagaanyi okuggwa.
Oluguudo lwa Busega -Mpigi Express lwa kilometer 23, lwatandika okukolebwa mu mwaka gwa 2020, wabula werutuukidde olwaleero nga omulimu ogwakakolebwa guli guli mu bitundu nga 20%.
Oluguudo lwa Najjanankimbi Busaabala kilometer 11 lwatandiika okulebwa mu mwaka gwa 2021 nokutuusa Kati lukyagaanyi okuggwa.
Oluguudo lwa Mityana -Mubende kilometer 84 lwatandiika okukolebwa mu mwaka gwa 2021 nokutuusa Kati nalwo lukyagaanyi okuggwa.
Ssempeebwa agumizza bannauganda abakozesa enguudo ezo, babeera bagumiikiriza nti government ekola buli ekisoboka okulaba nti emirimu ku nguudo ezo giggwa entambula erongooke.#










