Obwakabaka bwa Buganda bugguddewo Ssemaduuka w’ebyobulimi mu ssaza Buweekula okuyamba abalimi okufuna ebikozesebwa eby’omutindo omuli ebyuma, ensingo, ebigimusa n’ebirala olwo bafune mu bulimi n’obulunzi.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa agguddewo Ssemaduuka ono, n’omulanga eri banna Buweekula okumweyambisa balime mu nnima ey’omutindo bafunemu.

Ssemaduuka ono ateekeddwa ku kyalo Kiseenene mu ggombolola ya Mumyuka Bagezza e Mubende.
Enteekateeka eno evujjiriddwa Stanibic Bank wamu n’ettabi lya CBS PEWOSA Nsindikanjake ery’e Mubende.
Minisiter w’ebyobulimi mu Buganda Owek. Hajj Hamis Kakomo agambye nti Obwakabaka bulina enteekateeka y’okubunyisa Ssemaduuka z’ebyobulimi mu masaza ga Ssaabasajja gonna.
Ekigendererwa kyakusembereza abalimi ebyeetaagisa mu bulimi ate n’okubawonya ababaguza ebicupuli.
Ategeezezza nti mu bbanga eritali lya wala baakulangirira essaza eddala gyebagenda okuggulawo. Ssemaduuka.#











