Abadde munnakibiina kya FDC era Omubaka wa Mawokota South Munnamateeka Yusuf Nsibambi yegasse ku kibiina kya NRM ekiri mu buyinza.
Nsibambi ayaniriziddwa mu NRM Ssaabawandiisi wa NRM Richard Tadwong ne sipiika wa Parliament Anitah Annet Among, ku mukolo ogubadde ku kitebe kya NRM ku Kyadondo Road mu Kampala.
Munnamateeka era omusomesa w’amateeka Nsibambi agambye nti ekooye eby’obufuzi ebya Lwana, Nyiiga ebifumbekedde mu b’oludda oluvuganya government.
Nsibambi agambye nti ebbanga lyamaze ku ludda oluvuganya government talina kalungi kafunyeeyo okuggyako okusiga obukyayi, nagamba nti asazeewo yegatte ku NRM asobole okusakira abantu b’ekitundu kye.
Bino webijidde nga wakayita mbale nga Nsibambi awanguddwa ku kifo ky’omubaka wa parliament ekya Mawokota South, mu kalulu akaaliwo nga 15 January,2026, akaawangulwa Susan Nakawuki.#












