Government ya Uganda yakukwatagana ne ekelezia katolika saako family ya kaliddinaali wa Uganda, Emmanuel Wamala okuzimba ekkadiyizo, omunaakumibwa ebikwata ku mukululo gwe.
Enteekateeka eno erangiriddwa president Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa , bwabadde asisinkanyemu kaliddinaali nabenju ye ,ku bugenyi bwabaddeko mu Maka gobwa president Entebbe.
President Museveni agambye nti government omulimu guno yakugukola ng’eyita mu ministry y’ebyobulambuzi.
President era akiriza okusaba kwa Kalidinaali ye nga omukulembeze w’eggwanga okufuuka omuyima w’ekkadiyizo eryo.
Mu mbeera yeemu, government egenda kuzimba eddwaliro ery’omulembe mu bitundu bye Kaamaggwa erinaayitibwa Kaamaggwa Hospital,erigenda okuzimbibwa ku kyalo Kaamaggwa mu district ye Kyotera Kalidinaali gyazaalibwa.
President agambye nti eddwaliro lino wadde government egenda kukwaatagana ne family ya Kaliddinaali okulizimba, nti naye lyakusigala nga lya bwannanyini.
Mwami Museveni atenderezza nnyo Kaliddinaali Emmanuel Wamala olwettoffaali lyatadde ku ggwanga mu by’Enzikiriza n’okukyusa obulamu bw’abantu, era ayagaliza kaliddinaali obulamu obulungi.
Mu December wa 2025, Kaliddinaali Emmanuel Wamala yaweza emyaka 99 egy’obukulu.#












