Banakibiina kya NUP abataaweebwa Kaadi okuvuganya ku bifo by’Ababaka mu parliament mu kalulu ka 2026, bekozeemu akabondo okwekumakuma n’okwenaazaako ennaku.
Akabondo kano kakulemberwa Jude Mabaali eyali yegwanyiza eky’omubaka wa Kimaanya Kabonera kaadi netamuweebwa.
Amyuka Ssentebbe We kabondo ye Flavia Namulindwa ayali ayagala kaadi ya NUP ku ky’omubaka wa Gomba East.
Mu nsonga zebawadde okutandika akabondo kano bagamba nti bagala okusigala nga bamugaso mu byobufuzi by’eggwanga nokuwagira ekibiina kyabwe ki National Unity Platform.
Akulira akabondo kabaagwa mu kusunsula kwa NUP, Jude Mababaali agambye nti abantu bangi abaagwa baali bagwamu esuubi, bangi baasala eddiiro nebegatta ku bibiiina ebirala, kwekusalawo okuzza emmeme zaabasigadde.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius












