Kasibante Robert owa National Peasants Party asuunsuddwa akakiiko k’eby’okulonda aka The Electoral Commission of Uganda, okuvuganya ku bwa president bw’eggwanga mu kalulu ka 2026.
Kasibante olumaze okusunsulwa naakwasibwa emmotoka n’abakuumi.

Robert Kabasibante asuubizza banna Uganda nti ssinga bamulonda n’awangula akalulu kobwa President, buli kitundu kigenda kwefuga mu nkola ya Federo.
Asuubizza okutumbula embeera za banna Uganda nti ng’abayizi bonna ku mitendera gyonna basomera bwereere n’obujjanjabi mu malwaliro ga government nabwo bwakubeera bwa bwereere.
Kasibante ye muntu owokubiri ku basunsuddwa ku lunaku olusoose. Munna NRM Gen.Yoweri Kaguta Museveni yeyasoose okusunsulwa.
Elton Joseph Mabiriizi akakiiko kaamulagidde agende atereeze ebiwandiiko bye mu kakiiko akavunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu. Oluvannyuma azzeeyo naasunsulwa ng’ebiwandiiko biteredde.
Abalala abaliinze okusunsulwa ku lunaku olwokubiri ye Robert Kyagulanyi Ssentamu owa NUP ne Nathan Nandala Mafaabi abagenda okusunsulwa ku lunaku olw’okubiri nga 24 September,2025.













