Obwakabaka butaddewo bannamateeka abagenda okukola ku nsonga z’ okutwala Minisita omubeezi ow’ettaka mu government eya wakati Sam Mayanja mu kkooti, olw’ebigambo byazze ayogera ku ttaka ebigenderera okutyoboola Buganda.
Obwakabaka bufulumizza ekiwandiiko ekinokoddeyo ebigambo byewandiika nga 04 March,2025 ebikwata ku ttaka ly’ e Kaazi, ebyalimu okutyoboola ensala ya kkooti, okunyomoola amateeka, n’okutyoboola Obwakabaka n’ekitongole kyabwo eky’ebyettaka, wamu ne kalebule gw’azze ayogera ku Buganda n’abakulembeze ab’enjawulo.
“Ettaka ly’e Kaazi lyawandiisibwa mu mannya ga Kabaka wa Buganda era okuva ku Ssekabaka Daudi Chwa II, ettaka lino yalirina nga Kabaka wa Buganda so si ng’omuntu, oluvannyuma lyadda eri Ssekabaka Muteesa II era naye yali alikozesa nga Kabaka wa Buganda”

Olw’ebyaliwo mu 1966 ng’Obwakabaka buggyiddwawo, Ettaka lino lyateekebwa mu kakiiko k’ebyettaka aka Uganda Land Commission nga bwekirambikibwa mu Ssemateeka wa Uganda owa 1967 akatundu aka 108″
Obwakabaka bwe bwakomawo mu 1993, Ettaka lino lyaddizibwa eri Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II era naye alikozesa nga Kabaka wa Buganda, wabula si ng’Omuntu era mu kiseera kino lirabirirwa ekitongole ki Buganda Land Board.”
Obwakabaka butegeezezza nti teri akkirizibwa kukozesa ttaka lino erya Kaazi nga tafunye lukusa kuva eri Kabaka wa Buganda, era n’abaali baweebwako liizi baazifuna mu bukyamu era zonna zaasazibwamu.












