Abasirikale ba Police 4 mu district e Mbarara bavunaaniddwa mu mbuga z’amateeka olw’okusiwuuka empisa nebakulula omukyala mu bisooto, bwebaabadde bamutwala mu kaduukulu.
Bavunaaniddwa emisango gy’okulinnyirira eddembe ly’obuntu.
Abasirikale okuli Andrew Betunga, Darious Aharizira, Hope Nsasirwe ne Loyce Kiboneka, baaakwatiddwa ku katambi akaasaasaanidde omutimbagano, nga bakulula omukyala Victoria Katatoraine , nga bamulanga okusalimbira ku ttaka lyagamba nti alirinako ebiwandiiko, erisangibwa mu kibuga Mbarara ku kyalo Lubiri.
Basimbiddwa mu kakiiko akakwasisa empisa mu police mu kitundu kye Rwizi, era kano kasazeewo nti abasirikale bano abana betaaga kugobwa mu police.
Mu ngeri yeemu basimbiddwa mu maasi g’omulamuzi w’eddaala erisooma e Mbarara, naabasundika ku alimanda, nga bwebaliindiria okuweebwa ekibonerezo.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusoke Kituuma, agambye nti kino kyakulabirako kinene eri abaserikale abalinga bano.
Akulira ebikwekweto bya police AIGP Mwesigwa Frank ne Dinah Kyasiimire amyuka akulira eddembe ly’obuntu n’amateek mu police basisinkanye omukyala eyatulugunyiziddwa Victoria Katatoraine okubaako ensonga zebattaanya.
Bisakiddwa: Kato Denis