• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akkiriza okwetonda kwabenju ya Ssembuya Tamale Mirundi

Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akkiriza okwetonda kwabenju ya Ssembuya Tamale Mirundi

September 25, 2024
Uganda Airlines mu butongole etandise engendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise engendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 18, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akkiriza okwetonda kwabenju ya Ssembuya Tamale Mirundi

by Namubiru Juliet
September 25, 2024
in BUGANDA
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akkiriza okwetonda kwabenju ya Ssembuya Tamale Mirundi
0
SHARES
121
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ab’oluganda lw’omugenzi Joseph Tamale Mirundi  betondedde Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka bwa Buganda bwonna, olw’ebikikinike muganda wabwe byeyayogeranga  ebivvoola Buganda n’abakungu baayo mu kiseera weyayatiikirira ennyo ku Radio ez’enjawulo n’emitimbagano.

Basisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo nga bazze okwetonda, bakulembeddwamu  omukulu w’ennyumba ya Yowana Mirundi omwami John Ssembuya Ssali.

Ku lw’ennyumba ya Yowana Mirundi, John Ssembuya Ssali mu butongole yeetondedde Ssaabasajja Kabaka, Olulyo Olulangira, Katikkiro n’Obuganda bwonna olw’amuto we okweyisa  mu ngeri eyatyoboola enju, n’aboluganda bennyini nti embeera eno nebamalako emirembe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga abaanukudde era okwetonda kwabwe naakukkiriza . ” Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda ne ku lwange okwetonda kuno tukukkiriza, anti okwetonda kikolwa kya buntubulamu”

“Bwennafuna ebbaluwa yo, Ssaabasajja nnemutegeeza kubanga ebyasooka byali byogerwa bwogerwa, era Ssaabasajja yanziramu bwati nti “basisinkane owulirize kyebagamba, kubanga okwetonda kikolwa kya buntubulamu….”

Katikkiro Charles Peter Mayiga awabudde abakozesa omutimbagano okwegendereza byebaguteekako kubanga ggwo tegwerabira, nga kale guyinza okusubya bangi ebirungi, n’asaba abagukozesa okufaayo bagukozese ebyo byokka ebibayamba okuzimba obulamu bwabwe n’ebikuza ensi.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’alabula abakozesa obubi emitimbagano

Katikkiro agambye nti Tamale Mirundi yaweererezaako ku Radio ya Kabaka CBS era gyeyafunira ettutumu ne government n’emulengera n’emuwa omulimu wabula ate n’akyukira Obuganda, wabula nebutamwanukula.

Katikkiro era ayanukudde ku nsonga eyalemesa Obuganda okunyega akantu konna Tamale Mirundi bweyafa, bwategeezezza nti ng’Obuganda bwali tebumanyi waakutandikira, era nga baali tebamanyi na muntu omutuufu eyali owookuwa obubaka obwo oluvannyuma lw’ebyo byonna ebyali bikulembedde.

Ab’enju ya Tamale Mirundi beeyanzizza Ssaabasajja okusiima n’akkiriza okwetonda kwabwe era baguze ne Certificate okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

Bategeezezza nti bantu ba Kabaka abawulize era baweza okugenda mu maaso nga bawagira emirimu gya Buganda n’enteekateeka zonna naddala okugoberera ensonga Ssemasonga ettaano Obuganda kwebutambulira.

Mu bazze abalala kuliko Nnamwandu Nnassimbwa Juliet Nantege Tamale era akulira abakyala mu ggombolola Ssaabagabo Lufuka, ba mulekwa John Tamale Mirundi, Nantongo Teddy, Namuli Jane Mary ne jjajaabwe ow’olunyiriri lwa Lukwago mwebasibuka.

Bakulembeddwamu omwami wa Kabaka ow’eggombololola Ssaabagabo Lufuka omwami Matia Kayinja, gwebaatuukira nebamusaba abatembeete ku nsonga eno.

Kinnajjukirwa nti bwebaali mu Eklezia e Bunnamwaya, omukulu John Ssali yasuubiza okukiika embuga asisinkane Katikkiro yeetonde olw’ebigambo bya Mirundi, era nga tewaali mukungu yenna yakiikirira Buganda mu kukungubagira n’okusabira omuntu wabwe.

Tamale Mirundi yafa nga 13 August,2024 era n’aziikibwa e Kalagala Kaliisizo mu district y’e Kyotera.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Uganda Airlines mu butongole etandise engendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza
  • Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025
  • Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala
  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -