• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Obulungi bw’ensozi – Obulaba oziri wala

Eno ye Ntanda: Obulungi bw’ensozi – Obulaba oziri wala

October 17, 2023
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

May 20, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Obulungi bw’ensozi – Obulaba oziri wala

by Namubiru Juliet
October 17, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Obulungi bw’ensozi – Obulaba oziri wala
0
SHARES
183
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu ntanda ya Buganda eya nga 16 October,2023 eyindira ku CBS Fm 88.8, Kiberu Kizito Kamya obubonero yakukumbye obubonero 35, Bisaso Ibrahim yafunye 22 era nebayitawo okweyongerayo ku lumeggana oluddirira, songa Katamba Anthony eyafunye 17 yawanduse.

Ebibuuzo by’Entanda biibino;

1. Mpaayo omugaso omukulu ogw’enjuki –  Ziyamba mukuwakisa ebirime byaffe.

2. Mu ssaayansi, waliwo akatuli akassibwa ku mabbali g’essigiri, kayamba ki? – Kayamba okuyingiza empewo mu ssigiri n’ekyamuka bulungi.

3. Mu ffumbiro ly’Omuganda mulimu ebintu ebiraga obuyonjo, tuweeyo bibiri – Olweyo n’akatandaalo.

4. Amakulu g’ekisoko, Ekintu okuba nga kikirako ekyali ku mbaga e Kavumba –  Omukolo okuba nga gunyumye nnyo era ng’abantu bagwettanidde nnyo.

5. Akalombolombo kamu akalaga obuntubulamu bw’Omuganda nga keekuusa ku kukwata mu ngalo za munno –  Omwana omuto tawaayo mukono eri mukulu.

6. Olugero: Nawano lulyabirawo – Nga lwa mwavu.

7. Erinnya ery’ennono ery’omukulu w’ekika ekyawangudde engabo y’omupiira gw’ebika bya Buganda omwaka guno 2023 – Omutaka Kisolo.

8. Omwaka guno CBS FM efiiriddwa ba Director baayo babiri, tuweeyo waakiri omu ku abo –  Owek. Eng. Hubert Kibuuka ne Owek.Mustafa Mutyaba

9. Mu buttonde omuntu omukulu alina okubeera n’amannyo ameka? – 32

10. Mu mubala gw’abeddira enjovu mulimu ekisoko ekikubiriza abantu okutereka ku ssente zebakola, kitubuulire? – Tungulako emu.

11. Ekigambo mmanju kifunzibwa okuva mu bigambo ebyenjawulo, Bituwe – Nnyuma w’enju.

12. Mu lufumo lwa Njabala mulimu eby’obuwangwa by’Abaganda, tuwe bibiri –  Mulimu eky’okulima n’ekyobuko.

13. Omuganda ayinza atya okwetangira laddu okugwa awaka we ng’ayita mu nnono? – Awaka awo tulundirawo endiga oba okusimbawo omuti omuvule.

14. Twawulire amakulu g’ebigambo bino, Obuleebo n’obukundugulu – Obuleebo ge mazzi agava mu lubugo nga lukomagwa n’obukundugulu ge mazzi agava mu muwogo nga tumukakakata.

15. Olugero: Ekyange kimaza bbiri – Y’aliwa ogw’omugenyi.

16. Tuweeyo omuzizo ogudda ku kasooli nga guyigiriza abaana okukola emirimu n’obwegendereza –  Kizira okulya kasooli akutuseemu ng’asusibwa.

17. Oluusi tusanga emiti egy’ebibala mu nsiko eyo tegyasimbibwa bantu, ani aba yagisimba? –  Giyinza okuba nga gyasimbibwa ebinyonyi.

18. Kkiro y’amayinja n’ekkiro y’ebyoya by’enkoko eriwa esinga obuzito? – Zenkana.

19. Ani yawandiika ekitabo: Ensulo Y’olulimi Oluganda? –  Douglas Nkonge Kiyinikibi.

20. Olugero: Kyabangi –  Kirondamu nnawalubwa.

21. Tuweeyo ebitonde bya mirundi ebiri ebyeyubula – Omusota n’omunya.

22. Omwaka guno emikolo emikulu egy’okujjukira ameefuga ga Uganda, gyabadde wa? –  Kitgum.

23. Tuweeyo enkola ya mirundi ebiri Omuganda gyayinza okutangiramu ettaka okukuluggusibwa mukoka –  Okusimba emiti, n’okusimba ppaasikalamu.

24. Omwana bwalwala omulangira bamutangira okubuuka amasanganzira, Ssaayansi ki ali emabega w’ekikolwa ekyo? –  Ssaayansi alimu ali nti kitaase okusaasaanya obulwadde mu baana abalala.

25. Amafuvu agasibwa ba mulekwa gakolwa mu ki? – Gasalibwa ku lubugo.

26. Kinyonyi ki kyeboogeza ebigambo bino, Lino lyengedde, nalino lyendedde, yiiii Kazooba? –  Ssossolye.

27. Olugero: Gakuweebwa munno – Empogola egawa mususi.

28. Omutaka w’e Ntebettebe, omutaka oyo ayogerwako yaani? – Nnatuddedda.

29. Ekigambo ekirala ekitegeeza okweryanya –  Okwebuzaabuza.

30. Awasa omubi taba muwuulu, olugero olwo lutuyigiriza ki? –  Kirungi okusiima ekintu kyonna nebwekiba tekituukiridde nnyo.

31. Okukuba omuntu akalimi, kisoko, kitegeeza ki? – Kulimba.

32. Olulagala olussibwa mu nsuwa gyebagenda okwetikka luweebwa linnya ki? –  Olubuzo.

33. Edda abaganda tebaayagalanga kubeera na Kabaka Musamize, Kabaka ki eyasembayo okubeera omusamize? – Kabaka Tebandeke.

34. Mugoziita oyo yafuuka w’e Malongwe? Kitegeeza ki? – Aba yafuuka muwuulu.

35. Emigaso ebiri egy’ennyanja Nnalubaale nga gyekuusa ku buwangwa bw’Omuganda? –  Tuvubamu, era eriko n’ebizinga ewali obutaka bwabalubaale.

36. Olugero: Obulwadda – Bukaza ekkubo ku lwazi.

37. Tubuulireyo erinnya eddala erya Lubaale Kibuuka Omumbaale? – Kyobe Kyomubazzi.

38. Ekisoko: Okukisimba ne kiroko kitegeeza ki?  – Okulwa awantu ng’onyumya emboozi eteggwa.

39. Ekisoko: Okunywa ekintu obuzzi kitegeeza ki? – Okwanguyirwa okukola ekintu.

40. Ebinyeebwa bwebisiikibwa ku luggyo bivaamu akawoowo, akawoowo ako kaweebwa linnya ki? –  Akakalango.

41. Olugero: Obulungi bw’ensozi – Obulaba oziri wala.

42. Ekitongole ekiyibwa- ekikweya kyabanga na mulimu ki mu Lubiri? Kyekisitula emigugu gya Kabaka.

43. Ssinga oli akunyumiza nti embaga gyetwabaddeko yabaddeko ekkendula, aba ategeeza ki? –  Eba yabaddeko omwenge omuganda.

44. Olubugo olukomagiddwa obulungi ennyo nerufumbwako, luweebwa linnya ki? –  Kimote.

45. Ejjinja Kkungu kkulu nnyo wano mu Buganda era kkulu nnyo mu bimu ku bika byetulina wano mu Buganda, Lisangibwa wa? –  Kkungu

Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo
  • Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima
  • Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga
  • Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament
  • Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -