Government etabaddewo akakiiko ak’ekiseera akabakugu okwetegereza enteekateeka y’okuleeta digital number plates mu Uganda, egambibwa okuba nti yetobeseemu vvulugu mungi.
Saabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja agambye nti akakiiko kano kaliko byekagenda okwekeneenya,olwo kabyanjulire government mu bbanga lya wiiki emu.
Ensisinkano eyataddewo akakiiiko kano yavudde ku kusika omuguwa okubaddewo wakati wa Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafire ne minister wobutebenkevu Maj Gen Jim Muhwezi. Otafiire agamba nti entegeka y’okuleeta digital number plates yakolebwa mu ngeri yakupapirira eyolekedde okukosa bannauganda n’okufiiriza eggwanga.
Waliwo n’ebigambibwa nti kampuni y’aba Russia eyaweebwa contract okukola omulimu, nti ebigikwatako tebitegeerekeka.
Wabula mu nteekateeka y’okuleeta digital number plates government egenderera okussaawo enkola y’okulondoola n’okuwa obukuumi obwenjawulo ku mmotoka za Uganda.
Entegeka eno bwenaaba etandise, Number plate empya yakuba ku shs 714,300/= okukyusizaamu enkadde kwa shs 150,000/= ate eza pikipiki za shs 50,000/=.#