Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II emyaka 30 ng’alamula Obuganda, ebyenjigiriza yeemu ku nsonga esoosowaziddwa ennyo.
Omutanda yatikkirwa nga 31 July, 1993 e Naggalabi Buddo.
Amasomero n’amatendekero agawaggulu gatandikiddwawo Ssaabasajja okusobozesa abaana ba Buganda ne Uganda okufuna ebyenjigiriza eby’omulembe
Essomero lya Lubiri Nabagereka Primary School mu Lubiri lwa kabaka olw’emengo lyaddamu okusomesa abayizi mu 1998, oluvanyuma lw’akasambattuko ka 1966, amagye bwegaalumba olubiri lw’e Mengo
Lubiri High school lisangibwa mu lubiri e Mengo ne Lubiri High School Buloba Campus mu Wakiso.
Ettendekero lya Buganda Royal Institute e Mengo Omutanda yalagira litandikibwewo okubagula abayizi mu Masomo g’emikono omuli okutunga, okubajja , okuzimba, eby’amawulire n’ebirala era abavubuka bangi abafunye obukugu okw’etandikirawo emirimu n’okulwanyisa obwavu
Ssetendekero wa Muteesa 1 Royal University nayo yatandibwawo mu 2007, kati esajjakudde n’ettabi ekkulu e Kakeeka Mengo ne Kirumba e Masaka mu Buddu.
Mukusooka Muteesa 1 Royal University yayitibwanga Uganda Techinical College , ng’ obusambattuko bwa 1966 tebunagwawo.
Muteesa 1 Royal University eze ekulemberwa bannabyanjigiriza omuli Omugenzi Prof Munaku Kaama Nsereko , Prof Elisha Ssemakula , Omugenzi Isaac Newton Kigongo Bukenya nabalala , nga mu kiseera kino ekulemberwa Prof Vicent Kakembo nga Vice Chancellor .
Ssabasajja era yasiima natandikawo ensawo eya Kabaka Education Fund okuyambako abaana abatayina busobozi kusoma, nga basasulirwa ebisale ku mitendera egy’enjawulo.
Bangi basomye nebafuna emirimu mu bitongole bya bya Kabaka okuli CBS ,BBS , Buganda Land Board ne mu government eya wakati.
Ekitongole ky’ebyenjigiriza mu bwakabaka kizze kikulemberwa abantu abenjawulo abakoze omulimu ogwamanyi okuteekesa mu nkola ebiragiro bya Ssabasajja okutumbula ebyenjigiriza mu Buganda. Omuli Owek.John Cryzestom Muyingo, Owek.Saida Namyalo, Owek.Masagazi Masaazi, Owek. Twaha Kawaase, Owek.Prosperous Nankindu Kavuma.
Eyaliko Minister w’ebyenjigiriza mu Buganda Owek.John Cryzestom Muyingo era nga kati ye Minister omubeezi ow’amatendekero agawaggulu mu government eya wakati agamba nti mukiseera obwakabaka nga buddawo, ebyenjigiriza mu ggwanga byali mu kusoomozebwa wabula okuva omuteregga bweyenyigira obutereevu mu byenjigiriza waliwo enkyukakyuna nnene
Ow’ekitiibwa Prof Masagazi Masaazi nga yawerezaako nga Minister weby’enjigiriza e Mengo agamba waaliwo okwenyooma mu Baganda olw’obutasoma , wabula okuva Ssabasajja bweyalagira eby’enjigiriza bitekebweeko abaganda battanira okusoma okutuuka ku madaala g’ebyenjigiriza ebya waggulu.
Minister weby’enjigiriza,abakyala , eby’obulamu , ekikula kyabantu ne office ya Nabagereka Owek.Dr Prosperous Nankindu Kavuma ategezezza nti ebyenjigiriza mu bwakabaka bivudde wala nnyo naye nga kati waliwo enkyukakyuka nenne.
Mungeri yemu owekitiibwa Nankindu agamba nti essira bakuliteeka kukwagaziza abazadde okuweerera abaana.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius