Obwakabaka bwa Buganda butongozza ennambika entongole enaagobererwa mu kwabya ennyimbe n’obusika.
Ennambika eno yateekeddwateekeddwa era newandiikibwa ba Jjajja Abataka abakulu ab’obusolya.
Ennambika eno etongozeddwa Katikkiro wa Buganda ku mbuga enkulu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye nti ennambika eno nkulu okuttukiza obuwangwa obubadde buserebye abamu nebatuuka n’okwekwasa obusongasonga nebagaana okwabya ennyimbe.
Katikkiro asoomoozezza abawanuuza nti eddiini zabwe zikontana n’okwabya olumbe, n’abasaba bamulage olunyiriri mu kitabo ekitukuvu olubagaana okwabya olumbe.
“Be ppo nga mu Biyibuli ne Quran mulimu olunyiriri olugaana okwabya olumbe, naye nze sirumanyiimu, kale musaana okuva mu kwekwasa”
Agambye nti okwabya olumbe mukolo muzzanganda, okutabaganya ababa basoowaganye, ekika kisoosowazibwa era n’essanyu libeeramu olwo n’emireerembe negimalwawo n’ebirala, ebitasaana kukolebwa mu kupapirira era nga tebikontana na nzikiriza yonna.
“Wakyaliyo n’abakyayogera ku by’embugo, abo nsekerera basekerere, nti kubanga olubugo baalulaba mu ssabo, nnabuuza ssengange nti onaayita bute, anti n’engoye bazambala nga bagenda mu ssabo….”
Asabye abakulu mu bika abakwatibwako obutereevu bulijjo okwekkaanya obulungi ennambika eno n’okugigoberera, wamu n’abalungamya b’emikolo abaweebwa obuvunaanyizibwa okukulemberamu emikolo gino, okuwabula abategesi b’ennyimbe okutambulira ku nnambika entongole.
Minisita w’obuwangwa, Ennono, Embiri, Amasiro, Ebyokwerinda n’Olulimi Oluganda, Owek. David Kiwalabye Male, agambye nti bataddewo ebbaluwa entongole bbiri Ez’obwakabaka Okuli, Etambuza olumbe ate n’Eyomusika.
Mu ngeri yeemu Owek. Male ategeezezza nti Obwakabaka butandiseewo Etterekero ly’abasika (Data base) ku mutimbagano kwebanaayitanga okubalondoola n’okumalawo endooliito z’obusika.
Owek. Male agambye nti mu nnambika eno bingi ebibadde bikolebwa nga bikontana n’obuwangwa bwa Buganda era bigenda kutereezebwa, ng’okussaako omusika nga baakava emagombe, abasajja okusikisa abaana abawala, okukuba ebidomola ku nnyimbe ng’emibala n’ebirala bingi.
Ssentebe w’olukiiko lw’Abataka abakulu b’Obusolya, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba agambye, nti ng’Abataka bakkaanya okuleeta n’ennambika eno oluvannyuma lwokwekkaanya nti bingi mu mukolo gwokwabya olumbe byali bidobonkanye, bangi nga bekwasa omulembe n’eddiini.
“Empisa y’okwabya olumbe n’obusika, yeemu ku bizze bidobonkana elwembeera eyajjawo ng’obwakaba buwereddwa, omukolo neguva mu nkola entuufu, kyetwava tusalawo okuguzza obuggya”
Omutaka Nnamwama agambye nti kino bakikoze okunyweza empisa yaffe ng’abaganda, kyokka nga tubikwataganyizza n’enkola ey’omulembe omuggya.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K