• Latest
  • Trending
  • All

Government ekoze enkyukakyuka mu nkola ya bonna basome

March 21, 2023
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

May 20, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Government ekoze enkyukakyuka mu nkola ya bonna basome

by Namubiru Juliet
March 21, 2023
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
47
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Government erangiridde enkyukakyuka mu masomero gaayo aga bonna basome agali ku mutendera gwa primary ne Secondary, omuzadde takyaddamu kusasulayo wadde omunwe gw’ennusu.
Government esazeewo nti egenda kusasulira buli kimu  ekyetagiisa abaana basome, omuli school fees, ez’okukola ebigezo by’akamalirizo ebya UNEB, n’endala.
Abazadde kati basigazizza buvunanyizibwa bwakubagulira Uniform, ebitabo, pen, kalamu enkalu, wamu n`okubasibira emmere gyebagenda nayo ku ssomero.
Okutandika n’embalirira y`omwaka ogujja 2023-2024, government eyongedde ku nsimbi zebadde esaasanyiza ku baana abasomero mu masomero gaayo.
Buli mwana wa primary owa UPE government egenda kumusaasanyizaako emitwalo 151,711/= buli mwaka, ate term emu yakumusaasanyizaako 50,570/=.
Ate ku mutendera gwa secondary buli term, government buli mwana agenda  kumusasulira emitwalo 341,603/= olwo omwaka gubere gwa mitwalo 994,825/=.
Ate mu mbaliriira y`omwaka 2024-2025, government eteekateeka okuzimba amasomero agali ku mutendera gwa primary aga UPE mu miruka 1,617, agasuubirwa okuwemmenta trillion  1.98, nga  buli ssomero  lyakuwemmenta akawumbi 1.22bn.
Mu mbeera yeemu government egenda kuzimbi amasomero agali ku mutendera gwa secondary, mu Ggombolola 350.
Mu nkyukakyuka ezireeteddwa  government eyagala mu masomero gaayo buli musomesa abeere ng’asomesa abayizi 40 bokka.
Enkyukakyuka zino zanjuddwa minister Omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Joyce Moriku Kaducu ku media centre mu Kampala , era nategeeza bannamawulire nti zasaliddwawo Olukiiko lwa baminister, nekigendererwa eky`okwongera okulongoosa enkola y’amasomero ga bonna basome n’okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza.
Enteekateeka lya bonna basome yatandika mu January wa1997 mu primary, wabula emyaka bwegigenze zitambula agenze asereba era nekiwanuuzibwa nti abadde yafuuka bonna bakone.

Waliwo essuubi nti enkyukakyuka ezireeteddwa zakuyambako okutereeza ebyenjigiriza bya Uganda.

Bisakiddwa: Musisi John

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi
  • Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo
  • Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima
  • Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga
  • Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -