Ministry y’ebyentambula mu Uganda eragidde bannanyini bibanda bya mmotoka abazitundira ku makubo okuziggyawo bunnambiro, era ebikwekweto byakutandikirawo.
Minister omubeezi owe byetambula Musa Ecweru agambye nti bamaze okutegeeza ekitongole ekiddukanya e kibuga ki KCCA ne police okussa mu nkola ebiragiro bino.
Okusinzira ku ministry ye byetambula ebikwekweto bino bitandika wiiki eno etandika nga 02 March,2026, nga bitandikira mu bitundu okuli Nakawa, Banda,Kireka ne ku nguudo endala zonna zi mwasanjala.
Abakulu bagamba nti abatunda mmotoka ku nguudo zino bataataaganya ebyetambula saako okulabisa ekibuga obubi.
Omwogezi wa ministry ye byetambula Allan Ssempebewa mukwogerako ne CBS agambye nti batudde mu nsisinkano eziweerako ne bannyini bibanda bya mmotoka nga bateesa ku nsonga eno,naye nebafuuka bannampulira zzibi.
KCCA ekyagenda mu maaso n’okukola ebikwekweto ku basuubuzi abalala abatuundira eby’amaguzi ku nguudo mu bitundu bya Kampala, mukawefube gweriko owokulongosa Kampala alabikeeko nga ebibuga eby’omutindo.#













