• Latest
  • Trending
  • All
Akakiiko akalondoola emirimu gy’amasaza kawaddeyo alipoota – amasaza agasinga obungi gefubyeeko

Akakiiko akalondoola emirimu gy’amasaza kawaddeyo alipoota – amasaza agasinga obungi gefubyeeko

August 31, 2023
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

May 14, 2025
Abakozi ba CBS  bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

Abakozi ba CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

May 14, 2025

Abaluηamya b’emikolo bawabuddwa okwettanira okusoma basitule omulimu gwabwe

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Akakiiko akalondoola emirimu gy’amasaza kawaddeyo alipoota – amasaza agasinga obungi gefubyeeko

by Namubiru Juliet
August 31, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Akakiiko akalondoola emirimu gy’amasaza kawaddeyo alipoota – amasaza agasinga obungi gefubyeeko
0
SHARES
189
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Akakiiko akaaweebwa omulimu gw’okwetegereza n’okwekenneenya enkola y’emirimu mu masaza ga Buganda gonna e 18, kawaddeyo alipoota omuli byebaazudde eri minister wa government ez’ebitundu mu Bwakabaka Owek Joseph Kawuki.

Omukolo gw’okuwaayo alipoota eno gubadde mu Bulange e Mengo.

Ssentebe w’akakiiko kano Omuk. Godfrey Male Busuulwa agambye nti amazasa gonna bagatalaaze era basanzeeyo enkyakakyuka nnene ddala mu mpeereza y’abaami b’amasaza n’amagombolola.

Busuulwa agambye nti obumu bweyongedde nnyo mu masaza, eggombolola, emiruka n’ebyalo bya Ssaabasajja byonna ekyoleka nti Buganda egenda mu maaso era ekkubo ery’okugituusa ku ntikko lyerufu.

Agambye nti abaami b’amasaza bongedde amaanyi mu nkola zaabwe, newankubadde waliwo abakyalinamu okusoomoozebwa okutonotono.

Minister wa government ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka era avunaanyizibwa ku bantu ba Buganda abali ebweru wa Buganda Owek. Joseph Kawuki, yeebazizza.olukiiko olw’okukola obutaweera nebatuukiriza ekkatala eryabaweebwa.

Mu ngeri yeemu yeebazizza n’abaami b’amasaza, abamagombolola wamu n’abaseesa abakolaganye obulungi n’olukiiko nekibasobozesa okukola omulimu omulungi.

Obubonero n’ebivudde mu kunoonyereza omuli n’okulangirira Essaza eppanguzi byakulangirirwa Katikkiro wa Buganda essaawa yonna.

Essaza erinaaba linywedde mu malala akendo lyerinaategeka olunaku lwa government ez’ebitundu ne Bulungibwansi.

Ssaabasajja Kabaka yasiima okulambulanga essaza eriba likize ku gannaago mu mpeereza, era asiima n’alabikako eri Obuganda ku lunaku lwa government ez’ebitundu ne Bulungibwansi (Ameefuga ga Buganda) olukuzibwa buli nga 8 Mukulukusabitungotungo (October) buli mwaka.

Owek. Kawuki ajjukizza abaami ba Kabaka ku kiragiro kya Ssaabasajja kyeyawa bweyali aggulawo Olukiiko lwa Buganda olwa 31, ekyokusitula omutindo gw’empeereza y’emirimu n’okubeera eky’okulabirako naddala eri abavubuka.

Asabye abakyetaaga okubaako byebatereeza, beetunulemu batereeze awakyali emiwaatwa mu buweereza bwabwe.

Minisitule ya government ez’ebitundu mu mwaka guno 2023  ebadde etambulira ku mulamwa, “Weekebere, Yimirira Osimbule buto”

Omwaka ogwayita 2022, essaza Kyaggwe lyeryanywa mu gannaago akendo, era Ssaabasajja yasiima baweebwe kavu w’ensimbi n’ebirabo ebigenderako ebyabakwasibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Olukiiko olulambula emirimu gy’amasaza lukulemberwa Omuk. Godfrey Male Busuulwa amyukibwa Damscus Ssali.

Bammemba ye; Haris Lubega, kkaminsona mu minisitule ya government ez’ebitundu, Jjingo Shaban, Mukwaya Lawrence, Nabukenya Christine, Kasirye Denis, Kyeyune Kitikyamuwogo, Ssaabwe Moses, Katongole Muntumukulu, Nakanjakko Annet, Nakanjakko Alexa, Namugwanya Sarah, Ssennabulya Robert ne Hajji Bossa.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga
  • Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce
  • Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375
  • Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -