Club ya SC Villa Jogo Ssalongo erangiridde eyaliko captain wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Andy Mwesigwa okukulira ebyemirimu egy’ekikugu ku club eno.
Andy Mwesigwa yaliko omuzannyi ku club eno, kitegerekese nti yakwasidwa dda office era emirimu n’agitandikirawo mbagirawo.
Villa Jogo Ssalongo agisanze erwana butasalibwako mu liigi ya babinywera, ngeeri mu kifo kya 11 n’obubonero 30, ebuzaayo emipiira 2 okuggalawo season eno.
Abakulu mu club ya SC Villa bategezezza nti okulondebwa kwa Andy Mwesigwa bakulinamu esuubi okukomyawo ettuttumu lya club eno okutandika season ejja.
Andy Mwesigwa weyawummulira okuzannyira Uganda Cranes mu 2014,nga egizanyidde emipiira 78 n’agitebera goolo 8.
Yali captain wa Uganda Cranes wakati wa 2008 – 2015 era yasembayo okuzannyira Uganda Cranes mu 2014 Uganda bweyali ekubwa Guinea goolo 2-0 mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers, era yawebwa ne kaadi emyufu mu mupiira ogwo.
Ebweru wa Uganda Andy Mwesigwa yazanyirako mu Iceland, China, Kazakhstan,Turkey n’ewalala.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe