Tolit Simon Akecha yásunsuddwa okwesimbawo ku kaada ya NUP, mu kalulu k’okudddamu okulonda omubaka wékitundu kye Omoro.
Akalulu kano kakubaawo nga 26 may, 2022,okujjuza ekifo ekyalimu eyali sipiika wa parliament omugenzi Jacob Oulanyah.
Tolit wakuvuganya ne munna NRM eyalangirirwa edda nga ye mutabani wómugenzi Jacob Oulanyah, ayitibwa Andrew Ajok Oulanyah.
Tolit Simon Akecha ne mu kalulu akaaliwo mu January wa 2021 yavuganya Jacob Oulanyah.
Mu kalulu kano ekibiina kya Democratic party kyerayiridde nti sikyakukolagana na kibiina kirala kyonna, mu kalulu kókulonda omubaka wé Omoro.
Wabaddewo ebitandise okuyiti𝝶ana, ngábawagizi bóludda oluvuganya government bagamba nti ebibiina byabwe byegatte bisimbewo omuntu omu.
Wabula Dp egambye terina budde bwakwereega nabibiina birala, nti kisingako wakiri okubyesonyiwa nekitenyigira mu kalulu.
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya Dp Dr Gerald Siranda Black abadde mu luku𝝶aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya Dp mu Kampala, nágamba nti ebintu by’okukolagana n’ebibiina ebivuganya government ku nsonga z’akalulu baabikoowa.
Siranda agambye nti buli kibiina kyasigalira kweyagaliza buli kimu, nti nólwekyo buli kibiina bakireke kikole ebyakyo.
Siranda akinogaanyizza nti DP tekyaweekera bantu nti kubanga nakyo kibiina kyabyabufuzi.