Yogaayoga nnyo Ayi Nnyininsi Ekiryosserulanda ekimaamidde Obuganda.
Yogaayoga nnyo Nnamunswa, gwe Akaliba k’Engo akataanikibwako taba, Sserwatikalwattaka, Effumulizannyira mu Bwengula.
Nnyinimu Ssebugulubwannyomo, Kalalaankoma, Ssekkesa, Lukomanantawetwa, Musota Bbaffe Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II awezezza emyaka 70 egy’obulamu.
Cuucu Lukoma Nnantawetwa Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II, Kabaka wa Buganda owa 36 yazaalibwa nga 13 April,1955, mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, era yazaalibwa Ssekabaka Sir Edward Muteesa II ne Namasole Sarah Nalule Kisosonkole.
Nnaamunswa yatuuzibwa ku Nnamulondo nga 31 July,2025.
Amazaalibwa ga Ssebuufubwango Obutasaalimbirwamu Mbwa gakitiibwa nnyo eri Obwakabaka bwe, era buli lwe gatuuka Obuganda bubugaana essanyu, era obubaka obuyozaayoza Nnantasibwamuge okutuuka ku mazaalibwage buyiika nga mazzi okuva mu buli kasonda k’ensi.
Ba jjajja abataka abakulu b’Obusolya nga bakulembeddwaamu omukubiriza wabwe era omukulu w’ekika ky’Ekkobe Omutaka Nnamwaama Augustine Kizito Mutumba, beebazizza Katonda olw’okukuuma Mukama wabwe Ssaabataka, era akinogaanyizza nti Ssemunywa ky’ekifundikwa ky’Obuganda bwonna, kwe kukikkaatiriza nti obulamu bwa bbaffe bubadde bwa bibala, ng’alamula bulungi Obuganda.#