Engeye Kasolo akafaananako enkima naye ko keeru nnyo era nga kayonjo.
Engeye etambulira waggulu mu matabi g’emiti emiwanvu mu bibira ebikwafu.
Engeye tetera kukka wansi era nebwekka negwa eddayo mu bwangu.
Engeye ebeera yetalira ku miti eringa bwolaba ebinyonyi bwe byetala ku muti nga birya entontogolo.
Ku mbeera eno,Abaganda kwe baggya enjogera oluvanyuma eyafuuka omubala gw’abaganda abékika ky’Engeye:Oguvuga nti “TATUULA,TATUULA ASUULUMBA BUSUULUMBI”.